Jump to content

Kandida

Bisangiddwa ku Wikipedia
Candida Gram stain

Kandida

Obulwadde buno busobola okukwata mu bitundu bino; 1. Mu kamwa 2. Mu bitundu eby’ekyama

Singa buba nga bukutte osobola okubulabira ku bubonero buno; Mu kamwa: i) Ebipaapi ebyeru ku lulimi oba mu bitundu ebirala mu kamwa ne mu mumiro ii) Obuzibu obulala mulimu amabwa n’obuzibu mu kumira.

Mu bitundu by’abakyala eby’ekyama i) Okusiiyibwa ii) Okubabuukirirwa iii) Okuvaamu amazzi agakutuse ng’amata agafudde

Obulwadde buno tebutera kukwata basajja wabula nga bwe buba bubakutte bafuna okusiiyibwa ku busajja bwabwe. Tekitera kulabika bulwadde buno kusasaanira mu mubiri gwonna wabula nga bwe buba busasaanye buleetera omuntu okuwulira omusujja n’obubonero obulala. Kino kisinziira ku bitundu ebikwatiddwa.

Kandida alimu ebika amakumi abiri wabula ng’ekika kya Candida albicans kye kisinga okukwata ennyo abantu. Kandida ow’omu kamwa akwata nnyo abaana abato abali wansi w’omwezi ogumu, abakadde n’abantu ng’amaanyi g’emibiri gyabwe okulwanyisa endwadde gali wansi. Ebiyinza okunafuya amaanyi g’omubiri okulwanyisa endwadde kuliko; obulwadde bwa mukenenya, obujjanjabi obuweebwa omuntu oluvannyuma lw’okukyusibwa ekitundu ekimu mu mubiri, n’ebirala.

Bw’obulwadde obukwata mu bitundu eby’ekyama butera nnyo okujja mu kiseeera ng’omukyala ali lubuto, eri abo abalina emibiri eminafu okulwanyisa endwadde. Abantu abalina emikisa egy’amaanyi okufuna obulwadde buno beebo abateekebwa mu busenge obw’enjawulo mu malwaliro okufuna obujjanjabi obw’enjawulo, oluvannyuma lw’okuloongoosebwa, abaana abawewufu (abatali bazito kimala) mu kiseera nga bazaaliddwa, n’abo abalina emibiri eminafu mu kulwanyisa endwadde.

Ebikoleddwa okuziyiza obulwadde buno kwe kukozesa eddagala eriyitibwa chlorhexidine wamu n’okunyumunguzanga mu kamwa oluvannyuma lw’okukozesa eddagala erinuusibwa (inhalers). Obujulizi butono nnyo obuwagira enkozesa y’eddagala erijjanjaba endwadde ezireetebwa akawuka aka “bacteria” (probiotics) okuziyiza oba okujjanjaba obulwadde buno ne bwe kiba eri abakazi abafuna ennyo endwadde ez’enjawulo mu bitundu byabwe eby’ekyama. Ku kandida akwata mu kamwa eddagala lya topicalclotrimazole oba nystatin libeera likola bulungi. Singa bino biremererwa, awo omuntu abeera alina okugezaako ku ddagala nga; fluconazole, itraconazole, oba amphotericin B. singa obulwadde busasaana mu mubiri omuntu aweebwa amagezi okukozesa eddala nga caspofungin oba micafungin. Kandida ow’omu kamwa akwata abaana mukaaga ku buli kikumi (6%) abali wansi w’omwezi ogumu. Abaana abiri ku kikumi abali ku bujjanjabi obwa kookolo n’abo abalina obulwadde bwa mukenenya abiri ku kikumi nabo bafuna obulwadde buno. Abakyala ebitundu bisatu bya kuna (3/4) bafunayo obulwadde obuleetebwa entiko waakiri omulundi gumu mu bulamu bwabwe. Ensasaana y’obulwadde buno tetera kuba y’amaanyi okuggyako ng’omuntu alina omubiri omunafu.

Obubonero n’obulwadde obugenderako

Obubonero n’obulwadde obugendera ku kandida bukyuka okusinsiira ku kitundu we bukutte. Obulwadde buno ebiseera ebisinga buleetera omuntu okumyuka mu kitundu we bukutte, okusiiyibwa n’okuggwebwako emirembe, newankubadde ng’obuzibu busobola okweyongera singa obulwadde buno buba tebujjanjabiddwa mu bwangu. Mu bantu abalina emibiri nga gisobola okulwanyisa endwadde, buno bubeera bulwadde bwa lususu, njala za ngalo oba ez’ebigere oba ku bususu obuli mu mubiri obuseerera. Busobola okukwata ku bususu obugonvu okugeza ak’omu kamwa, mu mumiro oba wansi mu bitundu eby’ekyama. Kibeera kizibu okusanga abantu nga bano nga balina obulwadde buno mu bitundu nga; mu byenda, mu kawago oba mu muyitiro ogw’empewo nga bwe kisobola okuba kw’abo abalina emibiri eminafu.

Mu bantu abalina emibiri eminafu okulwanyisa endwadde, kandida ow’omu mumiro abatawaanya nnyo okusinga obo abalamu obulungi era nga bubeera n’emikisa mingi okufuuka obw’omutawaana ennyo. Obubonero obubaawo oluvannyuma lw’okukwatibwa kandida ow’omu mumiro mulimu; obuzibu mu kumira, okuwulira obulumi ng’omuntu amira, okulumwa olubuto lwa wansi, kammunguluze n’okusesema. Ebipaapi ebyeru mu kamwa bitera nnyo okulabikira mu baana abato wabula nga tekitwalibwa ng’ekyobulabe okuggyako nga biruddemu ne bisussa mu ssande entonotono.

Obulwadde buno bwe bukwata mu bukyala, buleeta okusiiyibwa, okubabuukirirwa, amabwa n’okuvaamu amazzi agakutuse. Mu basajja, obulwadde buno buleeta obubunero nga; okumyuka ku mutwe gw’obusajja, okuzimba, okusiiyibwa, amabwa, okuvaamu olusu olubi, okufuna obuzibu okubikkula eddiba ly’okubusajja n’okuwulira obulumi mu kufuuyisa oba mu kwegatta. Kandida ow’omu byenda mu muntu nga mulamu asobola okweyolekera ku bubonero nga buno; okusiiyibwa emabega, okulya emmere ng’eyitamu buyisi, okuzimba olubuto, kammunguluze, okufuna embiro, okugulumba mu byenda, okusesema, n’okufuna amabwa mu lubuto.

Okuziyiza

Emmere esobozesa omubiri okulwanyisa endwadde naye nga teriimu nnyo kika kya mmere ezimba omubiri eyambako okwenkanyankanya obuwuka obw’omugaso obubeera mu kamwa ne mu byenda. Okwambala engoye ez’omunda enkalu obulungi era ezaakolebwa mu ppamba kiyambako okukendeeza ku mikisa gy’okukwatibwa obulwadde bwa kandida.

Okukuuma akamwa nga kayonjo kiziyiza kandida ow’omu kamwa mu bantu abalina emibiri eminafu okulwanyisa endwadde. Abantu abali ku bujjanjabi obwa kookolo basobola okukozesa eddagala lya chlorhexidine okunyumunguza mu kamwa okusobola okuziyiza oba okukendeeza ku mikisa gy’okufuna obulwadde. Abo abakozesa eddagala nga linuusibwa bunuusibwa balina okunyumunguza mu kamwa n’amazzi oba eddagala erinyumunguza mu kamwa oluvannyuma lw’okunuusa eddagala eryo. Ku bakyala abatera okulumbibwa obulwadde obuleetebwa entiko (yeast infections), tewabaawo bujulizi bumala nti eddagala eritta obuwuka nga liyisibwa mu bukyala okugeza amakerenda oba bbongo lisobola okubayamba okuwonya endwadde ezijja oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa ennyo endwaadde zino.

Obujjanjabi

Kandida asobola okujjanjabwa n’eddagala erivumula endwadde ezireetebwa entiko okugeza; clotrimazole, nystatin, fluconazole, voriconazole, amphotericin B, ne echinocandins. Waliwo eryo erijjanjaba nga lyoza mu misuwa okugeza; caspofungin nga lino likozesebwa nnyo kwabo abalina emibiri eminafu okulwanyisa endwadde oba abalwadde abayi.

Mu kuddamu okwekenneenya ebyo ebigobererwa mu bujjanjabi n’enkwata y’obulwadde bwa kandida okwakolebwa mu mwaka gwa 2016, boogera ku bika by’enzijanjaba eby’enjawulo eby’obulwadde bwa kandida obw’enjawulo, engeri eddagala gye lisobola okugaana okukola ku bulwadde bwe lijjanjaba, embeera z’emibiri ku busobozi bw’okulwanyisa endwadde, ekika ky’obulwadde n’ekifo we bukwata ekikuukutivu wamu n’engeri gye busobola okufuukamu obw’omutawaana eri obulamu bw’omuntu. Kandida akwata mu byenda singa abeera akutte omuntu ng’omubiri gwe gw’amaanyi mu kulwanyisa endwadde, asobola okujjanjabibwa n’eddagala lya mili gram 100-200 eza fluconazole. Lino limuweebwa okumala essande bbiri ku ssatu (2-3) ng’alifuna buli lunaku.